Ssaabawolereza wa gav’t agamba batandise okussa ensala ya kkooti ensukkulumu mu nkola
Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka akakasizza nga gavumenti bwetandise okuteeka munkola ebiragiro bya kkooti ensukkulumu, eyasattuludde obuyinza bwa kkooti y'amagye okuwozesa abantu babulijjo ku nkomerero ya wiiki ewedde.Kiwanuka agamba nti mu kiseera kino kkooti z'amagye zonna tezituula era n'awabula nti emisango gyonna egirimu abantu babulijjo egibadde giwozezebwa kkooti eno gisindikiddwa mu kkooti ezabulijjo. Ono bino abyogeredde mu lutuula lwa Palamenti olwolwaleero.