TEMUTIISIBWATIISIBWA MBEERA:Ssaabalamuzi Dollo akunze abalamuzi okukola n’obwesimbu
Ssabalamuzi Alfonse Owiny-Dolo, asabye abalamuzi okukola emirimu gyabwe mu bulambulukufu awatali kutiisibwatiisibwa muntu yenna, wabula bakole ebyo amateeka kyegabalagira okukola.Bw'abadde ayogerako eri abalamuzi mu lukungaana lwabwe olw'omulundi ogw'abiri mw'omukaaga, Ssaabalamuzi asabye abalamuzi okujjukira nti obuyinza bwabwe bubaweebwa ssemateeka ne BannaUganda bonna, wabula ssi muntu Ssekinoomu.