“TEMUVA KU MULAMWA”; Kyagulanyi asabye bammemba okulwanirira enkyukakyuka
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi asabye bannakibiina obutava ku mulamwa ogwokulwanirira enkyuka kyuka mu bukulembeze bw’e Ggwanga .Kyagulanyi era asabye abantu okugenda mu maaso okukozesa kamera zaabwe mubuli mbeera yonna okusobola okufuna amazima ku buli bikyamu esiba biyinza okubikkirirwa. Ono abadde asisikanye bannakibiina okuva mu bitundu by’e Masaka, Mukono , Kira, olukiiko lwa KCCA nabarala abaze okumusasira obuvune.