Ab’e Kamwenge beezimbidde eddwaliro
Waliwo abatuuze ku byaalo bisatu okuli Kagada, Kakindo ne Nyabugaara mu ggombolola ye kahunge mu district ye Kamwenge abeekozeemu omulimu nebeezimbira eddwaliro nga kati baagala gavumenti ebafunire abasawo n'ebikozesebwa mu ddwaliro lino. Eddwaliro lyawemmensi obukadde mukaaga abatuuze bwe beesonze nga bawaayo emitwalo ebiri buli omu. Kiyagara Health Centre 3 bano lye babadde bettanira, lyesudde ebbanga lya kilometre kkumi ng'abatuuze bakaluubirirwa okutambula okutuukayo.