Ab’ebyobulamu baakwetegereza embeera bw’eri mu bannayuganda ku by'okulwanyisa omusujja gw’ensiri
Minisitule ye by'obulamu etubuulidde nti ebakanye ne kaweefube w'okutalaaga eggwanga nga yeetegereza engeri omusujja gw'ensiri bwegukosezza bannayuganda n'engeri gye bagwetangiramu.Kino kigendereddwamu okumanya musujja guno weguyimiridde , kiyambe gavumenti okumanya amakubo g'eyinza okukozesa okugulwanyisa.Batubuulidde nti mu uganda omusujja guno gukendedde, kyokka nga mu nsi yonna tukyakwata kifo kya kusatu mu mawanga agasinga okubaamu omusujja gwensiri.