Aba NRM e Masaka bakunze abalonzi b’e Kalangala
BannaNRM mu bbendobendo lya Masaka bongedde amaanyi mu kaweefube w'okunoonya obuwangizi obubatuusa ku bukulembeze bw'ekibina obw'okuntikko.Olwlaeero, abamu ku beegwanyiza obukulu buno okuli ne Minisita Haruna Kasolo basiibye Kalangala eyo nga bamatiza abaayo nga bwe bagenda okubasaggulira empeereza za gavumenti kavuna babakkiriza okutuula ku bifo ebisemberedde abakola ku nsonga.Ono yeegwanyiza kifo ky'omumyuka wa ssentebe wa NRM mu bintudu bya Buganda.