ABA NUP BALWANAGANYE: E Busia waliwo abanyiga ebiwundu, 5 bakwatiddwa
Abantu 5 be bali mu kunyiga ebiwundu oluvannyuma lw'okulwagana okwabaddewo wakati w'abawagizi ba NUP e Busia.Okulwanagana kuno kwabaluseewo oluvannyuma lw'omu ku bammemba b'ekibiina kino mu kitundu okugaanibwa okwetaba mu lukiiko olwabadde lugendereddwamu okugonjoola emivuyo mu kuwandiisa ba mmemba mu NUP okugenda mu maaso .Poliisi yakutte abantu bano oluvannyuma n'ebata ku kakalu kaayo .