Abaasimattuka enjega y'e Kicwamba bakukkuluma
Abasimatuka enjega eyafiiramu abayizi abasoba mu 80 bakukulumidde gavumenti olwokubasosola mu bantu abagenda okuliyilirwa sso nga beebamu ku bafirizibwa eby’ensuso.Mu baluwa omukulembeze we ggwanga gyeyawandikidde minisitule y’ebyensimbi nga 24th Feb 2025 yalagira ministule eno okusasula famile ezafiirwa abaana mu njega ye Kichwamba nga buli famile yakufuna obukadde 15.