Ababaka ba palamenti beeraliikirivu nti akalulu ka 2026 kaandiba aka kaweerege
Ababaka ba palamenti beeraliikirivu nti akalulu ka 2026 kaandiba aka kaweerege naddala okusinziira ku byalabiddwako mu kitundu kya Kawempe North olunaku lw'eggulo ng'eyesimbiddewo ku tiketi ya NUP Luyimbazi Nalukoola awuttulwa ab'ebyokwerinda.Bano batuuse n'okwebuuza ekibinja ky'abaserikale ba JAT gye kyatuuse okutandika okwenyigira mu nsonga ezikolwako poliisi so nga bbo ogwabwe gwakulinda batujju abalumbye bambalagane nabo.N'ekyabasajja bano okujja nga bambadde obukokoolo ababaka bagamba kabonero akakasa nti nabo baba bakimanyi nti bye bazze okukola bimenya mateeka.