Ababaka bavumiridde enkwata ya Besigye
Ababaka mu lukiiko lw'eggwanga olukulu okuva mu bibiina eby'enjawulo, awatali kwesalamu, bavumiridde engeri eyakulirako ekibiina ki FDC, Dr. Kizza Besigye gye yakwatiiddwamu okuva mu ggwanga lya Kenya.Bano bagamba nti kuno kulinnyirira ddembe lya buntu era kikolwa ekiraga obutali bwenkanya.Abamu baagala gavumenti ya Kenya eveeyo ennyonnyole ku by'abaddewo na lwaki ebikolwa nga bino byeyongedde mu ggwanga lyabwe ng'okusinga bikolebwa ku ba ludda oluvuganya mu Uganda.