Ababaka bayisizza etteeka lya UPDF, abantu baabulijjo bazziddwayo mu kkooti y’amagye
Palamenti olwa leero ezizzaayo abantu baabulijjo mu mikono gya kkooti y’amagye okubavunanirayo ku misango abazze balondoola ensonga eno gye bagamba nti tegirambuluddwa bulungi. Bano era bazze balumiriza nti emisango gino girina bulungi amateeka kkooti ezabulijjo mweziyinza okugiwozeseza wabula nga bino byonna byabuusiddwa amaaso.Enoogosereza mu teeka lya UPDF ziyisiddwa wakati mu kuwakanyizibwa alipoota z’abatono bbiri nga ebbago liwagiddwa alipoota y’abatono emu.