ABABALIRIZI B’EBITABO BYA GAV’T: Ab’amawanga ga Africa basisinkanye, baliko bye basabye
Gavumenti mu Africa zikubiriziddwa okubaga amateega aganayambako wofiisi z'ababalirizi b'ebitabo bya gavumenti okwongera okwetengerera.Okusaba kuno kukoleddwa mu lukungaana lw'ababalirizi b'ebitabo bya gavumenti okuva mu mawanga 26 okwetoloola Africa mwekizuuliddwa nti ne tekinologiya gwe beeyambisa, tanatuukana bulungi na mutindo okubasobozesa okukola omulimu ogutuukiridde.Olukungaana luyindidde mu Kampala nga lw'akumala ennaku ssatu.