Ababundaabunda mu Kampala bangi tebalina biwandiiko bibakakasa
Abanoonyi b’obubudamu abawangaalira mu kibuga Kampala, bakiikidde gavumenti ensingo olw’obutafaayo ku mbeera gye bawangaaliramu ey’okubonaabona. Bagamba nti okufuna ebiwandiiko ebibakkiriza okubeera wano kikyagaanye , ekibalemesa okufuna obujjanjabi, okusomesa abaana, kwossa n’emirimu emirala. Bino babiroopedde ekitongole ki Justice centre uganda, ekiyambako abantu okufuna obwenkanya naddala okuwoza emisango ku bwereere.