ABAKOZI BA KCCA ABABANJA: Embeera gye balimu etyeemula emmeeme
Abakozi ba KCCA abeera enguudo baludde nga bakukkuluma olw’obutasasulwa nga babanja emyezi wakati w'ena n’etaano. Wadde palamenti yabiyingiramu neragira bano basasulwe tekikolebwanga kufuna bumativu. Kati katukutwale abamu kubakozi bano gyebasula olabe embeera gyebalimu oba oli awo ekigyayo ekifaananyi nti bwebalwawo okusasulwa embeera eyongera okubabijjira.