Abakugu bagamba akawuka akaleeta mukenenya keyongedde mu bawala
Abakulu mu kakiiko akalwanyisa mukenenya ka Uganda Aids Commission bennyamivu olw'omuwendo gw'abavubuka abakwatibwa akawukakano okusigala waggulu newankubadde buli kisoboka kikoleddwa okubasomesa. Alipoota y'akakiiko kano eyakafuluma omwaka guno yalaga nga ku bantu 38,000 abapya abakwatibwa akawuka kano ebitundu 80% baana bawala. Kati bateesa nti okugema kino gavumenti efeeyo nnyo okukuumira abaana abawala mu masomero, kibataase okukeera okwetaba mu bikolwa eby'okwerigomba.