Abakulembeze ba NUP bambalidde Omubaka Michael Kakembo olwokukontana n’ekibiina
Obukulembeze bwa NUP e Ntebe bwesambye ebikolwa by’omubaka wekibiina kino owa Munisipaali y’e Ntebe Michael Kakembo. Kakembo ono ye yasemba ekiteeso ky’omubaka wa Mityana South Richard Lumu ekyokuleeta ennongosereza mu tteeka erifuga Palamenti okuwa ababaka b'oludda oluvuganya obuyinza okwelonderanga. Akulira Oludda oluvuganya Abakulembeze bano batandise n’okulowooza ku ky’okukungaanya emikono egiggyayo omubaka ono mu Palamenti.