Abakulembeze ku mukago gwa East Africa bakubye ttooki mu bituukiddwako mu myaka 25
Wakyaliwo emiziziko egyekiise mu mukago gw’amawanga ga East Africa egyetaaga okuggyibwawo, okusobola okutuukiriza ebigendererwa by’omukago guno Leero wabaddewo ensisinkano okukuba ttooki mu bituukiddwako mu myaka 25 bukya mukago gwa East Africa guddamu wabula ng’abamu ku bakulu bakukkulumidde bannaabwe abakola ebintu ebikontana n’ebigendererwa by’omukago guno Okusaawo ssente ezaawamu, okukkiriza bannansi mu mawanga ga East Africa okwetaayiza mu buli ggwanga awatali abakuba ku mukono byebimu ku bitunuuliddwa okwongera okunyweza omukago guno.Juma Kiirya ali mu Kibuga Arusha ekya Tanzania.