Abaludde mu kisaawe bawabudde ku nyimba eziwemula
Abaludde mu kisaawe ky’ebiyiiye oba Performing Arts baagala banna Uganda beenyinni beekwatiremu mu kulwanyisa abayimbi ne bannabitone abalala abeegumbulidde omuze ogw’okuwemula nga bayita mu biyiiye bye bafulumya. Omu ku bannakatemba ow'erinnya John Ssegawa agamba nti ebiyiiye byonna bifugibwa buwangwa bw’olulimi oluba lukozeseddwa kale ng’oyo atasobola kugondera mateeka agafuga olulimi olwo oba obuwangwa bw’abantu mwakolera ebiyiiye bye kikakata ku bannannyini lulimi olwo okumuboola. Kino kiddiridde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okuvaayo n’akoma ku bayimbi aboogerwako ng'abasusizza omuze gw’okuwemula okuli Liri Pazo ne Gravity Omutujju.