Abantu 4 bafiiriddewo emmotoka bwebatomedde oluvannyuma lw'okulemerera omugoba waayo
Bundibugyo ku kyalo Burondo abantu bana bafiiriddewo mmotoka kika kya Land Cruiser bwebatomedde oluvannyuma lw'okulemerera omugoba waayo. Mmotoka eno esoose kutomera abantu babiri n'oluvannyuma n'etomera ennyumba maama n'omwana we nebalugenderamu. Bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero