Abasawo ku ddwaliro lye Bundibugyo beekubidde enduulu lwa mbeera mweriri
Eddwaliro lye Bundibugyo litandise okweraliikiriva abakulembeze b’a disitulikiti olw'embeera mweriri.Ebizimbe byeddwaliro lino bikaddiye nnyo so nga n'ebyuma ebikozesebwa mu ddwaliro ebimu tebikyakola. Waliwo obweraliikirivu nti singa wabalukawo ekirwadde mu kitundu kino embeera yandisajjuka, kubanga lino embeera mweriri terisobola kukwasaganya mbeera.