Abasiraamu basabye banna NRM okukomya okulwanagana
District khadhi we Wakiso Sheik Erias Kigozi asabye bannabyabufuzi obitemalaamu nebatuuka n'okutuusa ku banaabwe obulabe ku lwe by'obufuzi ng'agamba nti bizza eggwanga emabega Nga asinziira kulukungana lwa bannakibiina ki NRM lwebakubye e Nansana okutongoza ekibinja ky'abavibuka abagenda okunonyeza NRM obuwagizi, Kigozi ategeezezza nti ssi kyabugunjufu ebyobufuzi okubifiula akaddaala k'obukyayi n'okulwanagana. Abamu ku bannakibiina bawezze okussa obutakaanya bwabwe ebbali basobole okunonyeza ekibibiina obuwagizi mu kotundu.