Abasuubuzi mu butale bwa Kampala basobeddwa lwa kasasiro
Ekibuga Kampala kitubidde ne Kasasiro nga we twogerera engudo n’obutale obw’enjawulo abakolera mu bifo bino ssaako n’abakulembeze basobeddwa olw’obutamanya mu kiseera kino wa we bayinza okuyiwa kasasiro. Kino kireese obweraliikiriivu obwamaanyi olw’endwadde enkambwe eziva ku bukyafu ezoolekeedde okulumba abantu n’addala mu kiseera kino eky’enkuba.