Abasuubuzi mu katale k’e Buwenge bagaanye okusasula ebisale, ssibamativu n’empeereza
Abasuubuzi abasoba mu 580 abakolera mu katale k’e Buwenge bakalambidde nti si baakusasula misolo olw’okuba tebalaba nsimbi ze basasula gye zidda. Akatale kano akali ku yiika eziwera 4 bagamba tebamanyi ani avunaanyizibwa ku kukalabirira kuba kakaddiye era bakolera mu mbeera mbi. Ebimu ku byebeemulugunyako ye kasasiro atayoolebwa. Kyokka bano basuubiziddwa obuyambi bwa gavumenti okulaba ng'akatale kano kadda engulu.