Abatuuze baagala kasasiro e Kiteezi aggyibwe ku mayumba gaabwe
Poliisi y'e Kiteezi ne Kawempe ziyiiriddwa mu bungi mu kitundu kye Kiteezi okuziyiza abatuuze ababadde baagala okugenda beseeteereze kasasiro eyasigala e Kiteezi gwe bagamba nti akyali wa bulabe ate nga KCCA yo yeesuliriddeyo gwa nnagamba. Bano bagamba nti okuva enjegalweyagwawo, abantu 35 nebafa, bazze basuubizibwa nti Kasasiro ono eyasigala wakuggyibwawo wabula nga buteerere. Eno y'emu ku nsonga lwaki badduka mu mayumba gaabwe kubanga kasasiro ono alegamyayo amazzi, era nga babadde baagala beekwatiremu, baddemu okwebakako mu nju zaabwe.