Abavubuka abaliko obulemu balaajana, bagamba basosolwa buli gye balaga
Abavubuka abaliko obulemu banakuwalidde gavumenti olw’obutafaayo ku nsonga ezibasomooza ze bagamba nti zibakuumidde mu bwavu n’okwejjusa. Bano bagamba nti bangi naddala abakyala bakabassanyizibwa, okusosolebwa naddala nga bali mu bifo eby’olukale, songa ne bwe kituuka ku ntekateeka za gavumenti ez’enkulakulana be basembayo okufiibwako. Bino babyogeredde mu lukungana mwe bakubaganyirizza ebirowoozo ku nsonga ezibasomooza.