Abe Kaleerwe babuulidde poliisi ebibaluma
Abatuuze mu katale ke Kaleerwe balumirizza Poliisi okubakwatanga nga tebalina misango nga ekigendererwa kubakamulamu nsimbi. Bagamba nti bafuba okwekuuma obuteetaba mu buzzi bwa misango, kyoka abaserikale bawano baabafuula lusuku. Bino babyogeredde mu nsisinkano yabasuubizi, kko nabakulira poliisi n’omuntu wa bulijjo.