AKABENJE K’E KASSANDA: Abaafunye ebisago bakyapoocya
Abaafiiriddwa abantu baabwe mu kabenje akaagudde mu district y'e Kassanda olwaleero batandise okukima emirambo gy'abantu baabwe okugenda bagiziike.Bangi ku baasimattusse akabenje kano akafiiriddemu abantu e 15 bakyalina ekiwuggwe era ng'ebyabaddewo babinyumya babiddingana.Poliisi efulumizza olukalala lw'abo abaafudde.