AKABENJE TEKAMUMALAAMU SSUUBI: Yiino emboozi ya Jemima Nabukeera eyaggwa ku kabenje
Waliwo omuyizi Jemima Nabukeera Nyaketcho eyafuna akabenje emyaka 10 egyiyise wabula nga n’okutuusa essaawa ya leero tawonanga era ng’atambulira ku miggo eyafunye obubonero butaano mu bigezo bya P.7 ebyakadda. Kumpi buli mwaka omwana ono alina okulongosebwa okugulu wabula kino tekyamulobera kukola buluungi mu bigezo by’eky’omusanvu. Wabula wadde yakoze buluungi bwatyo, essubi ly’okweyongerayo mu siniya ttono ddala kuba nyina talina nsimbi zimuwerera ate nga akyasasula ez’okumujanjaba. Herbert Kamoga awayizaamu naye.