Akakiiko k’eby’okulonda koogedde we kakoma ku by'okusattulula FDC
Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga katangaazizza ku buvunaanyizibwa bwako mu kusattulula ekibiina oluvannyuma lw'ekiwayi kye Katonga okusalawo okusattulula ekibiina ki FDC basobole okutondawo ekibiina ekipya Omwogezi w'akakiiko kano Julius Mucunguzi agamba nti ogwabwe gwakufuna oba okwaniriza ekiteeso ky'okusattulula ekibiina wabula nga tebayinza kweyingiza mu nsonga za kibiina Enkalu ku ani omutuufu natte zazzeemu oluvannyuma lwa ttabamiruka eyatuuziddwa ab'e Katonga okusemba ekibiina kisattululwe .