Akakiiko ka PAC kakunyizza aba minisitule y'ebyobulimi ku by'okulima omuceere
Akakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya ya ssente z'omuwi w'omusolo ka Public Accounts Committee, kalagidde abakulu okuva mu minisitule y'ebyobulimi okuleeta contractor eyalina okuzimba ekiddiba mu district ye Bugweri ne Bugiri nga kino kyalina okuyambako okutumbula eby’okulima omuceere mu distulikiti zino Kitegeerekese nga Contulakita ono bweyafunako ssente obuwumbi 15 ku mulimu ogwamulemerera so ngera kitegeerekese nti akyalina ssente z’abanja Abakulu okuva mu minisitule ye ye byobulimi babadde baze mu kakiiko okwewozaako kunsasaanya yaabwe mu mwaka ogw'ebyensimbi 2023/2024 nga bwe biri mu alipoota ya Ssaababaliri wa gavumenti.