AKALULU KA 2026: Akakiiko kagamba ebisinde 11 bye byagala okuwandiisibwa
Akakiiko k’ebyokulonda kategeezezza nga bwe waliwo ebisinde (kkumi na kimu) 11 bye kakkirizza okugenda okukungaanya ebyetaagisa byonna bisobole okuwandiisibwa mu butongole nga ebibiina by’ebyobufuzi mũ ggwanga. Muno mulimu ekibiina kya Peoples Front for Freedom (PFF) ekyekutula ku FDC ekitegeezezza nga bwe kisuubira okuwaayo ebyetaago bino eri akakiiko k’ebyokulonda wiiki ejja.