Akalwaliro omwafiira omwana :Ab’eggombolola ye Makindye - ssaabagabo bakagadde
Waliwo akalwaliro akagaddwa abatwala eggombolola y'e Makindye nga abakakulira balangibwa kusibya kasitoma waabwe eyabaleetera omulwadde n'abafaako kyokka bweyava mu mbeera nebamuyitira poliisi nti mubbi. Charles Bukenya yeyakigwako, oluvannyuma lw'okufiirwa mutabani we ow'emyezi munaana, gwe yali addusiddwa ku kalwaliro kano okufuna obujjanjabi. Ekiwayi kya poliisi n'omuntu wa bulijjo mu Kampala ekikulirwa Anatooli Muleterwa kyawaliriziddwa okutuukako mu kifo kino, era nebatubuulira nti abaserikale abaakwata Bukenya nabo baakwatiiddwa banoonyerezebweko.