Alipoota egamba bannayuganda ssente bazimalira ku mmere
Tukitegedde leero, nti bannayuganda abasinga obungi ensimbi zebafuna bazimalira kusinga ku mmere . Bino bibadde mu alipoota y'ekitongole ky’ebibalo era engeri bannansi gye bayimiriddemu mu byenfuna. Abakulu kyokka basanyufu nti obwavu bwo bwongedde okukendeera na ddala mu bitundu by'obukiikakkono. Alipoota y'emu eraga nti eggwanga terinaba kukola bulungi nnyo mu by'obulimi n'amakolero olw'ensonga ezitali zimu zebannyonnyodde.