Amagye gegaanye okubaako kye gamanyi ku fujjo lya JATT ku Nalukoola
Eggye lya UPDF lyesambazze ebikolwa ebyakolebwa akabinja k'eby'okwerinda ka JAT ku Lwokusatu lwa wiiki eno, nga bakwata eyegwanyiza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North Luyimbazi Nalukoola. Ono agamba nti bbo nga amagye tebavunaanyizibwa ku kabinja kano,newankubadde nga kimanyiddwa nti JAT ekolebwa ebintogole by'ebyokwerinda eby'enjawulo okulwanyisa obutujju. Bino amagye gabyogeredde mu kusaba okutegekeddwa bannamawulire mu Kampala nga nga beewonga eri omukama abakwatireko mu kalulu ka 2026 ke baatidde edda nti kandiggwera mu vvaawo mpitewo.