Amasasi e Kasenge, ababadde bava okunyaga bakubye 2, omu afudde
Abazigu nakaakati abatanakwatibwa, ekiro ekikeeseza enkya ya leero baliko edduuka lya Mobile money lye bakidde ne balinyaga ku kyalo Kasenge mu Kyengera Town Council mu District ye Wakiso, wakati mu kavuyo ne bawandagaza amasasi agasse omuntu omu n'okulumya omulala.Tukitegedde nti nga tebafuuka ba bulabe basoose kunyaga ensimbi ezisoba mu bukadde 25 bwebadde baduka ne bakuba amasasi mu bbanga, okukakana nga gakutte abatuuze babiri omu ku bbo naatalutonda.Poliisi etubuulidde nti eri ku muyiggo gwabazigu bano.