America okusazaamu obuyambi kitandise okukosezaamu ababundaabunda
Ekiragiro ky'omukulembeze wa America Donald Trump okuyimiriza obuvujjirizi mu mwanga agatali gamu nga ne Uganda mw'eri, ky'ongedde okuluma na ddala mu bitundu awali abanoonyi b'obubudamu. E Kyegegwa eyo, eriyo essomero erisomerwamu abaaba b'abanoonyi b'obubudamu eryolekedde okuggalwa oluvannyuma lw'abasomesa abawerako okutuula olw'okubanga babadde bavvujjirirwa mu nkola eno ey'obwa nakyewa. Essomero lirina abayizi 1800 wabula nga abasomesa 17 bbo baalyabulidde dda kyokka nga teririna nsimbi ziyinza kubazza libeesasulire.