Asse omwana wa mugandawe e Masaka naye bamusse
Ku kyalo Kitengesa mu Divizoni ya Nyendo Mukungwe e Masaka omusajja akakkanye ku mwana wa muganda we n’amutta nga akozesa ejjambiya.Omusajja akoze ettemu lino ye Deo Mwebe nga ono akakanye ku kawala ka Sophia Nantume n’akatema okutuusa lw’akasse , oluvanyuma naye abatuuze ne bamutta.Abatuuze bateebereza nti Mwebe yandiba nga abadde aliko ebiragalagala byakoze.