Ba ssentebe balumbye ssentebe munnaabwe lwa ttaka
Bassentebe ba LC1 okuva ku byalo munaana (8) mu muluka gw’e Matanga mu kibuga ky’e Masaka baliko ssentebe munnaabwe gwe batabukidde nga bamulanga kubba ttaka lye baagulira awamu nga lya kuteekako kitaawuluzi n’okutuulizamu enkiiko z’abantu ku byalo bino. Ettaka lino bagamba baaligula ku nsimbi ezibaweebwa ku LC okuva mu gavumenti.Abaalyezza balagiddwa okuleeta ebiwandiiko ebiraga nti lyabwe nga n’essomero lye babadde baazimba ku ttaka lino bassentebe nga bali wamu ne Town Clerk basembye liggalwe.