BANNAMAWULIRE NE GAVUMENTI: Minisita Muruli ayagala wabeewo okwogerezeganya
Minisita w’abakozi Wilson Muruli Mukasa asabye wabeewo okwogerezeganya w’akati w’ebitongole by’amawulire, ne government okunyweza enkolagana erabika ng’esajjuluse olw’ebikolwa by’okutyoboola eddembe lya bannamawulire ebisusse ensangi zino. Minisita Mukasa abadde Nakasongola, bannamawulire abagasakira mu bendobendo lya Luweero gyebakulizza olunaku lw’abwe mu nsi yonna. Ne mu bendobendo ly’e Masaka abagasakira oludda olwo bekokodde ebikolwa by’okutyoboola eddembe lyabwe nga bakuza olunaku luno mu kibuga Masaka.