BBAASI EZIKOLEBWA MU UGANDA:Ababaka beebuuza lwaki zitundibwa buwanana
Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akalondoola eirimu gya gavumenti sibasanyufu ne kkampuni ya Kiira Motors Corproration ekola baasi ekika kya kayoola. Bano bagamba nti emmotoka ze bakola za beeyi nnyo era nga kizibu bannuaganda ababulijo okuzigula, kigambibwa nti baasi z'abano zitandikira ku bukadde bitaano okutuuka ku bukadde lunaana.Abakulu abaddukanya kkampuni eno babadde balabiseko mu kakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti ebyenjawulo okwenyonyolako kunsasanya ya ssente ezabaweebwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2022/2023.