BBOMU EZAALI MU KAMPALA : Laba ebikyuse mu by’okwerinda ku CPS
Nga guwera omwaka bukyanga bbomu zikuba ebifo ebyenjawulo wano mu kampala, abebyokwerinda bongedde okwenyweza naddala mu bifo ebyakosebwa bbomu zino.Wabula ebifo ebimu mpaawo byakwerinda byamanyi byateekebwawo naddala ku parliamentary avenue awakuumibwa nga okusinga abakuumi ba kampuni z'obwananyini bebaliwo .Wabula abamu ku batambuze beemulugunya ku kyokubasibira webalina okutambulira nga kati bavuganya na bidduka mu kkubo.