Byanyima agamba bukya Besigye atandika kuvuganya gavumenti tebafunanga mirembe
Winnie Byanyima nga ye Mukyala wa Dr. Kizza Besigye agamba nti emyaka bba gyamaze mu byobufuzi ku ludda oluvuganya tebagifunyemu mirembe era ng’ayagala gavumenti ekomye eky’okukozesa amagye okutulugunya abagivuganya. Byanyima abadde ayogerako eri bannamawulire ku mbeera ya bba oluvannyuma lw’okumukyalirako mu kkomera e Luzira olunaku lwa jjo. Mu kiseera kino ono agamba bali mu kusala ntotto, ku ky’okuddukira mu mbuga z’amateeka okuwakanya eky’omuntu waabwe okuwozesebwa mu kkooti y’amagye