Damalie Nachuha :Wuuno omukyala aduumira poliisi y’ekitundu kya East Kyoga
Buli nga 7 omwezi gw'omwenda mu mawanga agali wansi w'ekitongole ky'amawanga amagatte lwakukuzibwa ng'olunaku lwa Poliisi n'ekigendererwa ky'okusiima emirimu gya Poliisi mu kunyweza ebyokwerinda n'okutebenkeza ensi .
Nga tutunuulira emirimu egikoleddwa Poliisi, tukuleetedde emboozi y'omupoliisi omukyala yekka aduumira ekitundu kiramba ekitwala disitulikiti eziwera 10.
Eno y'emboozi ya Damalie Nachuha omuduumizi wa Poliisi y'ekitundu kya East Kyoga.