E Fort Portal abakulembeze b’ennono bavuddeyo okukuuma obuyonjo
Obukama bwa Tooro butandiseewo kaweefube w'okuyonja ekibuga Fort Port portal mu ngeri Bulungi bwa nsi nga kino baakukikolanga ku buli ntandikwa y'omuwezi. Ekimu ku bigendererwa bya bano, kwe kwagazisa abantu obuyonjo n'okuzzaayo ekitibwa kya Fort Portal ng'ekibuga ekitawunyikamu mu buyonjo. Omukama wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru entekaateka eno y'asinze okugiwomamu omutwe.