E Kyankwazi abalina ekizibu ky’amaaso tebaagala kugenda mu malwaliro
Kizuuse nga bwewaliwo abantu abawerako mu disitulikiti ye Kyankwanzi abalina ekizibu ky’amaaso wabula nga bangi batya okugenda mu malwaliro okukeberebwa. Okusinziira ku Mubaka omukyala owa Disitulikiti eno Christine Bukenya embeera eno eviiriddeko ebirwadde byamaaso okusajjuka. Omubaka Bukenya abadde mu disitulikiti eno n’ekibinja ky’abasawo b’amaaso okuva mu mawanga agenjawuo abaawadde abantu mu kitundu kino obujjanjabi bw’endwadde z’amaaso obutali bwakusasulira.