E Masaka omulamuzi ayongezaayo okuwulira omusango gw’abavubuka a 13
E Masaka omulamuzi wa kkooti esokwerwaako Kayiza Abdallah ayongezaayo okuwulira omusango gw’abavubuka a 13 abaalabikira mu katambi e Kyazanga mu disitulikiti ye Lwengo nga bakuba abantu mu kadde abaali begwanyiza ebifo mu kamyufu ka NRM bwebaali banonyeza akalulu mu disitulikiti ye Lwengo.Bino byaliwo nga 31/06/2025 ssentebe wa disitulikiti eno Abdulah Kitatta bweyali awenja akalulu,abavubuka abagambibwa okuba nga baali mu nkambi ye bwebakakana ku bantu ne babakuba okubula okubatta.Bbo bebatusaako obulabe baagala bano baleme kukkirizibwa kweyimirirwa, bavunaanwe nga bali mu kkomera.