Ebbago ku bufumbo: Waliwo abaagala obw’ennono butongozebwe
Ababaka ba palamenti bagala ebbago ly’etteka ely’obufumbo li Marriage Bill 2024 litongoze obufumbo bw'obuwangwa nga obumu ku bufumbo obukirizibwa mu matteka agafuga eggwanga. Bano bagamba nti singa abafumbo beeyanjula mu maka ga bazadde baabwe, kiba kimala okukakasa nti bafunye olukusa okufuuka abafumbo. Kino kidiridde okwebuza ku babaka ba palamenti wamu ne banakyewa ku baago lino, nabutya bweriyinza okujjibwamu ebirumira.