Ebibira biyidde e Nakasongola, mmotoka ezizikiza ziremereddwa
Omuliro ogugambibwa nti guva ku batemi b’amanda n’abookya empiira gwakasanyawo yiika ezisoba mu 3000 ez’ebibira n’ebirime ebirala mu district y’e Nakasongola. Ab’ebibira bagamba nti ensimbi z’ebagenda okufiirwa mu muliro guno ziri eyo mu buwumbi era tebamanyi kiddako kubanga gukyakoleera buli olukya. Bano kati basaba government okubaddukirira mu mbeera eno. Herbert Kamoga yeerabidde n’agage ng’abantu balwanagana n’okuzikiza omuliro guleme kusanyawo kibira era ebisinga y’abirina.