Ebirowoozo ebingi ng’ozadde bw’otefaako ofundikirira mu biragalalagala
Abakazi bangi bafuna embuto nga tebanafumbirwa, ebiseera bingi nekibaviirako okweraliikirira ku kiki keinaddirira na butya ensi bw'enaddamu okubatunuulira. Mu ngeri ya kagenderere, kino kibasiindiikiriza okwennyika mu birowoozo naddala nga bamaze okuzaala abamu nekibaviirako okuyiga okukozesa ebiragalalagala. Buno nno bulwadde bwennyini obuba buluma omuntu nga tamanyi. Sheeba Ntaratambi, y'omu ku bantu abaali bayiseeku mu mbeera eno, nga y'ayinza okutuyambako okumanya bw'ekibeera ng'ogirimu.SHARIFA NAMBI y'akutte ku lugero lwe era k'alambulule.