EBIZIBU BY’E KAKUMIRO: Abaayo bagamba biva ku bakulembeze banafu
District y’e Kakumiro y’emu kw’ezo ezigezezzaako okwerwanako okubaako wezituuka wakati mu kusomoozebwa okutoogerekeka. Kyokka abakulembeze mu kitundu kino balowooza nti singa ebizibu bye bazze boogerako n’ebbula ly’eddwaliro eddene n’abasomesa abatamala mu masomero tebikolwako, eby’okukulaakulana bandisigalira kubitunuulira butunuulizi. Bano era balowooza nti ebizibu nga bino, by’ebiviriiddeko amasomero mu kitundu kino okusigala nga gakola bubi nnyo ku mitendera gyonna.